Ebya Frank Gashumba Bibuzaabuza

0
1421

Olwaleero munnankulakulana era omusajja abadde yeegulidde erinnya mu kukolokota gavumennti ku nsonga ezitali zimu Frank Gashumba ne muganda we Innocent Gashumba lwebakutte olunaku olw’okuna nga bakuumirwa emabega w’emitayimbwa ku kitebe kya poliisi e Kireka ekikola ku misango egya nnaggomola.
Frank Gashumba nga ye nannyini kisinde kya Sisimuka Uganda, yakwatibwa ku bigambibwa nti yeekobana ne muganda we okukolera mu linnya lya ministry y’ebyokwerinda n’ekigendererwa ekyokufera abamu ku basiga nsimbi.