Eby’abasawo Bigenze Mu Kkooti

0
427

Kkooti tewulidde omusango gwa bibiina byabakozi era egwongezzaayo okutuusa nga 23 omwezi guno. Ekibiina by’abakozi mu mukago gwa Notu baagala Kkooti emenyewo ekyabasawo okuteseganya ne gavumenti nga bayita mu kibiina kyabwe ekibagatta ekya Uganda Medical Association, kyebagamba nti si kyekisaanidde, wabula oludda oluwaabi terwategeeza Ssaabawolereza wa gavumenti mu budde, era woofiisi y’esabye akadde eyongere okwetegereza ensonga eziri mu musango guno kkooti ky’ekkirizza.