Eddogo Lizze Mu By’emyaka

0
806

Abasamize mu disitulikiti y’e Mukono bawagidde ennyingo 102(b) ekwatibweko Pulezidenti Museveni asobole okwesimbawo mu 2021 nga tewali kawaayiro konna mu ssemateeka kamukugira. Bano nga bebamu ku bantu abeetabye mu lukiiko Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku mazzi Ronald Kibuule lweyakubye mu maka ge agasangibwa e Kapeke mu ggombolola ye Nama e Mukono bakoowodde lubaale n’emisambwa gisobole okuyisa Pulezidenti Museveni mu mbeera esoomooza gyalimu.