Esannyu Na'maziga mu Kooti ku bya Kaweesi

0
325

Eribadde essannyu ate gafuuse amaziga, ababiri ku bana abateeberezebwa okutta Andrew Felix Kaweesi abayimbuddwa kkooti enkya ya leero, bazzeemu ate nebakwatibwa ekintu ekireese amaziga eri ababadde okumpi. Wabula obutafaananako nebwegwali ku bana abaddemu okukwatibwa omulundi guli bebakwata nga bali mu ddene badda wabwe, ababiri abazzeemu okukwatibwa olwaleero bakabatemedde mu kkooti wennyini nti mwe mugguddwako emisango emirala.