Kadaga Ayagala Museveni Amuddemu Kubyokulumba Paalimenti

0
351

Sipika wa paalamenti Rebecca Alitwala Kadaga kyaddaki ayogedde ku bbaluwa gyeyawandiikira omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni nga yebuuza ewaava abakuumaddembe abaakuba ababaka. Kadaga abotodde ekyama bw’abadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’omubaka wa Kasanda North Patrick Nsamba Oshabe omu ku baakubwa abajaasi abagambibwa nti ba kibinja ekikuuma omukulembeze w’eggwanga ki Special Forces Command (SFC). Kadaga agambye nti nga sipika naaye kyamuyitirirako okulaba abasajja b’atamanyi nga balumba paalamenti nga bawalabanya ababaka.