Mbu Akaawaayiro 102(b) Kakyamu

0
986

EBy’okuggya ekkomo ku myaka ate bikubye ekkoona bwewazzeewo oluvuuvuumo nti ezimu ku nnyingo eziri mu ssemateeka baawagikamu mpagike nga n’eya 102(b) eyogeza abantu ebingi mweri.
Akakiiko ka paalamenti akakola ku mateeka kasazeewo okunoonyereza ku nsonga y’emu kakakase oba ddala waliwo ennyingo ezaateekebwa mu ssemateka w’egwanga nga teziyisiddwa.
Kino kiddiridde amyuka Ssaabawandisi wa NRM Richard Tadwong okwanjulira akakiiko ka paalamenti obujulizi obulaga nti ennyingo eno eya 102 (b) akakiiko akaabaga ssemateeka tekaagiyisa okuggyako okukubaganyako ebirowozo.