Nambooze Anyumya Obulumi Bwalimu

0
363

Abaserodooti mu musaza ly’e Lugazi bakaayuukidde Pulezidenti Museveni ne banne abamuli ku lusegere olwa bbo kyebayise olukwesikwesi olugenda mu masaso okuggya ennyingo 102(b) mu ssemateeka w’eggwanga olwo omukulrmbeze sliko afuge okutuusa Katonda lw’alimujjulula. Bano nga basinziira mu kitambiro kya mmisa ku klezia eyabbulwamu omutuukirivu Augustine e Seeta, omubaka wa munisipaali y’e Mukono Betty Nambooze nga yeebaza Omukama olw’okumussuusa n’akomawo okuva e Buyindi gy’abadde yagenda omulongoosa oluvanyuma lw’okukubibwa mu paalamenti gyebuvudeko. Bannaddiini bagamba ennyingo 102 B tesaana kukwatako, esigale nga bw’eri kati mu ssemateeka.