Ababaka B'eluweero Beekulisizza Okuyisa Ebbago Ly'emyaka

0
845

Ababaka ba palimenti ab’eLuweero ne Nakasongola aba NRM bagamba nti tebagenda kwejjusa kyebaakola okuwagira okujja ekkomo ku myaka gy’omukulembezze we ggwanga bwe baawagira okukyusa ssemateeka okuggyamu akawayiiro aka 102 (b). Bano bategeezezza nti yadde baatumwa Bantu okubakikilira mu paliment, tebayinza kusimbira kkuuli nteekateeka yonna eba ereeteddwa ekibiina kya NRM ne president Museveni ne bweb’entya.