Abakristo Mususse Obukodo

0
592

Ssabalabirizi wa Kanisa ya Uganda eyawummula Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo awerezza abakkirizi obubaka bwa ssekukulu wakati mu ku basoomooza okukolerera obwakabaka bwa Katonda nga beekwata Yesu Kristo . Eyali Omulabirizi Nkoyoyo agamba nti wakati mu bbugumu eriri mu bantu nga beetegekera SEKUKULU, abantu basaanye bajjukire nti obulokozi ly’ekkubo lyokka mwebalina okutambulira mu buli kyebakola ng’abagoberizi ba Kristo.