Abiriga Aleese Ekirowozo Ekipya

0
253

Omubaka wa munisipaali y’e Arua mu paalamenti Ibrahim Abiriga omu kwabo ababaka abasinga okuwagira ekiteeso eky’okuggyawo ekkomo ku myaka gy’okwesimbawo ku bwapulezidenti, nate azzeemu okutegeeza ng’enteekateeka bwezigenda mu maaso okwanja ebbago eddala ery’okwongeza ekisanja ky’ababaka ba paalamenti okuva ku myaka 5 okudda ku 7. Omubaka Abiriga ategeezezza nti nti emyaka etaano mitono enyo, omubaka okusobola okuweereza obulungi abantu be nga waakiri emyaka omusanvu omuntu aba asobodde okuweereza obulungi.