Agambibwa Okutta Tebamulekedde Kantu e Mubende

0
370

Ebintu by’omusajja ateberezebwa okutemula abantu bana e Mubende bisaanyiziddwawo abantu abatanategerekeka mu kitundu kino. Ebintu ebisaanyiziddwawo bya Sebadduka Juma (40) omutuuze ku kyalo Kyampisi mu ggombolola y’e Kibalinga e Mubende era nga ono yakwatibwa police oluvannyuma lw’okuteeberezebwa okutemula abantu bana okuli Naluggwa Specioza 55, Namata Sarah 17, Nakachwa Specioza 4, Musaasizi Fred 2 ku Lwomukaaga oluwedde nga 16.