Alipoota ya Makerere Ekwasiddwa Museveni

0
377

Kyaddaaki akakiiko akateekebwawo okunoonyereza ku bizibu BY’E Makerere kaafulimizza alipoota yaako nekagikwasa omukulembeze weggwanga nga kaliko ebintu bingi byekazudde era nekasemba bikolebweko okusobola okuzzaawo ekitiibw akya Yunivaasite eno. Alipoota eno yakwasiddwa omukulembeze weggwanga mu maka ge e Rwakitula nga kati esigadde kutwalibwa mu lukiiko lwaba mminisita ekubaganyizibweko ebirowoozo olwo etwalibwe mu paalimenti eteesebweko.