Amajaani Ne Kaawa Obyawula?

0
591

Newankubadde Uganda ekwata kifo kyakubiri mu kulima emmwanyi mu Africa ng’egoberera Ethiopia ekwata ekisooka, Bannayuganda okunywa kaawa tebakwettanira era bangi baamanyiira kunywa majaani. Okusinziira ku Andrew Kirama okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’emmwanyi mu ggwanga, Bannayuganda emmyanyi bazitwala ng’ekirime eky’ettuzi kyokka nga n’abazirima tebamanyi bweziwoma.