Amasiro Ganaatera Okuggwa – Katikkiro

0
275

Omulimu gw’okuzaawo amasiro ga Bassekabaka ba Buganda e kasubi wegutuuse gunatera okujibwako engalo nga yinginiya w’omulimu guno akakasizza nti gutuuse ku bitundu 70% era omwaka ogujja gakuwebwayo mubutongole.
Kamalabyonna wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga agamba, guno gwemulimu ogukyasinze obuzito mu Buganda kasookedde ayingira naye alina essuubi nti wegutuuse guzaamu amanyi.