Ani Ayagala Okwokya Ekibuga?

0
829

Ssaabadumizi wa Poliisi kale Kayihura yategeza nga Poliisi bweyagudde mu lukwe lwabantu ababadde bategesse okwokya ebikondo bya masanyalaze mu Kampala mpozi nokuyiwa omusaayi gw’ente ku palamenti nga okwanjula alipoota yakakiiko ka paalimenti ku kukyusa ssemateeka kugenda mu maaso era nasuubiza okuteeka obukuumi ku bikondo amasannyalaze wano mu kibuga okutangira embeera eno tutuuse mubitundu ebyenjewulo wano mu Kampala okulaba oba nga ddala Poliisi byeyogedeko byabadde bituufu naye tetulabye muntu yenna akwatibwa kwabo abasangiddwa nga batudde oba nga bayimiridde ku minti gy’amasanyalaze