Aripoota Ey'abatono ku Ky'emyaka

0
679

Ababaka ba paalamenti 8 ku kakiiko k’amateeka basazewo okuwandiika alipota ewakanya alipota yabangi ku baago ly’e tteeka lyomubaka Raphael Magyezi. Ababaka bano bagamba nti akakiiko tekebuuza kimala ku Bannayuganda kiki kyebogera ku nsonga eno. Kati bano beegatiddwako ababaka abalala abawakanya ebbago lino era beerayiridde okulemesa ebbago okuyitamu nga bagamba nti bamaze okufuna omuwendo ogumala okuliremesa.