Bannaddiini Boogede ku By'emyaka

0
80

Nga ababaka paalimenti kyebajje bawe bannayuganda ekirabo kya ssekukkulu nga kyatanganjula ssemateeka, bannansi bangi balabika nga sibasanyufu neekyo paalimenti kyeyakoze. Bannaddiini balidde mu ttama nebagamba nti kyonna ekyakoleddwa kiraga obwannakyemalira n’okweyagaliza okukyasinze, nebalabula ababaka nti byonna byebaakoze kuwemuka kwennyini. Bantu bakatonda era bageraageranyizza ekikolwa ky’ababaka kw’ekyo kalinkwe Yuda Escariot kyeyakola eri omwana wa Katonda.