Bemwalonda Mmwe Mubagambeko, Bannaddiini Bakoowu – Munsinya Kalumba

0
708

Ku ekeleziya ya Yezu Kabaka mu Kampala, bwanamukulu Mgr Gerald Kalumba enenyezza bannayuganda abalumbagana abakulembeze b’eddiini nti basirise busirisi nga paalamenti ne presidenti M7 batyobola ssemateeka.
Munsinya Kalumba agamba nti mu kifo ky’okunenya bannaddiini, bannayuganda bennyini abalonzi bebalina okwegambira ku bakulembeze bebaalonda.
Ate president wa FDC Eng. Patrick Amuriat awadde bannayuganda amagezi okukozesa omwaaka omupya 2018 okutereeza ensobi ezaakoleddwa palaamenti.