Enkaayana Z'ettaka Zeeyongera

0
350

Abatuuze abasoba mu 50 balumbye amaka g’omugagga geyazimbira abakozi nga baagala maneja abakulembere abatwale ewa mukamaawe agambibwa okubafera obuwumbi 2 n’obukadde 100 ng’abalimba nga bweyali agenda okubafunira ebyapa by’ettaka lyeyabaguza mu 2011. Bano ababadde tebasalikako musale nga babagalidde amafumu, ejjambia, emiggo wamu n’obusaale ba mu disitulikiti y’e nakaseke.