John Nagenda Atabukidde Mukama We

0
993

Omuwabuzi w’omukulembeze w’eggwanga omulala, musajjamukulu John Nagenda ayatulidde president Museveni nti kyalina okukola kati kulaga ggwanga musika anaamuddira mu bigere mu 2021 mu kifo ky’okussa omukono ku bbago ly’etteeka eryatuuse dda ku mmezza ye. Nagenda era agamba nti ekibiina kya NRM kyalisaanawo ssinga n’ababaka baakyo abataawagira myaka bakwatibwa mu ngeir embi.