KCCA Ekubye Express Ggoolo 1-0

0
472

Ba nnantamegwa ba liigi y’eggwanga eya Uganda Premier league aba Kcca FC bakubye Express goolo 1-0 okulinya mu mupiira okubade ku maka gabwe e Lugogo. Tito Okello yatebedde KCCA goolo mu dakiika eye 78, era KCCA nesigala mu kyokubiri emabega wa Sc Villa ku bubonero 29 nga express esigade mu kya 15 nobubonero 11. Mu mirala egibadeyo, SC Villa ekoze amaliri ga goolo 1-1, ne Jinja SS, ate Vipers ewuttude Proline 3-0.