Mbu Tumukunde Yatulugunya Abasibe

0
767

Ba pulida ba abanyarwanda omukaaga abakwatibwa ekitongole kya magye ekikeesi ekya Directorate of Military intelligence balumiriza Minisita akola ku butebenkenvu Generala Henry Tumukunde okutulugunya abantu babwe abakwatibwa. Ba pulida bano bagambye bannamawulire mu Kampala nti omu ku bakwate yakubye kirayiro mu kkooti nga alumiriza minister Gen Henry Tumukunde omutulugunya nga amukaka okulumiriza Gen. Kayihura ne Presidenti wa Rwanda Paul Kagame nti baliko olukwe lwebalukira Uganda. Wabula omwogezi wa UPDF Brigadier Richard Karemire agamba nti abo byebogera ku minister Henry tumukunde sibitufu era byakwagala kwonona linya lye.