Omupoliisi Afiridde mu Kabenje e Mukono

0
918

Omusirikale wa Police afiiridde mu kabenje e Mukono n’abalala 2 nebaddusibwa mu ddwaliro nga basigaddeko kikuba mukono emmotoka ya Police ezikiriza omuliro mwebabadde batambulira bw’eremeredde omugoba waayo n’eyingirira omuti ku kitebe kya munisipaali y’e Mukono. Omugenzi ategeerekesse nga Michael Mutyabule ng’abadde akola mu kitongole kya police ezikiriza omuliro e Mukono.