Ssaabasumba Akangudde Ku Ddoboozi

0
301

Ssaabasumba w’esaza ly’e kelezia ekkulu erya Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga atabukidde ababaka ba palamenti nga yeewunyuunya lwaki baagnye okuwuliriza abantu bonna abagezezzaako okubalabula ne bayisa ebbago ly’etteeka lyagambye nti lyennyamizza Bannayuganda. Dr Cyprian agamba nga bannadiini nabantu abakulu abebuuzibwako ensonga baasaba amaloboozi gabannayuganda gawulirizibwe munsonga y’okukyusa mu ssemateeka naye kino tekyakolebwa.