Ssaabasumba Metropolitan Jonah Lwanga Atabukidde Ababaka ba Paalimenti

0
350

Ssaabasumba w’eklesia mu Uganda ng’ono yaakulira enzikiriza y’ekisoddokisi mu ggwanga Metropolitan Jonah Lwanga, atabukidde ababaka ba paalimenti abagufudde omugano nga ogw’enswa obutawuliriza bannayuganda ku nsonga ezikwata ku ggwanga lyabwe, nti bano kati akizudde obutamanya bwebubatawaanya.
Muntu wa Katonda ono asoomoozezza ababaka ba paalimenti okumuyita mu paalamenti eyo abasomese endaba y’ensonga, kubanga balabika beerabidde n’omubala okutambulira eggwanga lino.