Ssekukkulu Ddala Etuuse

0
944

Bannabulemeezi bali mu keetereekerero ak’okujaguza SEKUKULU y’omwaka guno ogwa 2017. Abasinga ku bano balimu kuyooyoota empya zaabwe n’amayumba gaabwe omubadde wakolebwa emirimu egyenjawulo omuli okukubiramu amatoffaali bali mu kugaggyawo. Abakyala endagala baazisaze dda, amatooke nebayunja nga bulyali si kulwa ng’ababbi bagabasooka. Wabula abamu beeraliikirivu ku kyebanaaliisa abaana baabwe nga bagamba nti omwaka guno tegubatambulidde bulungi olw’agazibu omuli ekyeya ekyakosa ebirime byabwe ekibalumizza obwavu nga kati tebalina ssente.