Aba "Bodaboda 2010" Lweruno Lwebaalinda?

0
466

Abakulembeeze nabamu ku bamemba b’ekibiina kya Boda Boda 2010 banji webali batuyaana bwezikala ng’entabwe eva ku kikwekweeto ekyatandiise olunaku olwagyo, mwebayoledde abanji nga kigambibwa nti bano balina okubaako byebanyonyola kwebyo ebize biyitingana nti babadde bafuuka banatagambwako, nga nebikolobero babikola mpaawo abakuba ku mukono. E Natete ekiro babayodde enkya yaleero abamu basangiddwa ku Top Radio nayo nebabayolerayo era omusasi waffe Farish Magembe atuseeko mu kifo kino.