Aba Bodaboda Bagobye Bannabyabufuzi mu Byabwe

0
820

Abavuzi ba Boda Boda abegattira mu kibiina kya Century Boda Boda Riders’ Association balabudde bannabyabufuzi abeefuula ababalumirirwa mu kiseera kino okwesonyiwa ensonga zaabwe kuba bulijjo babonaabina nga babatunuulira kyamui. Bagamba webatuuse omulimu gwabwe balina essuubi nti gugenda kutereera oluvanyuma lw’akabinja ka 2010 okusatululwa.