Abazadde Bagobye Heedimaasita Lwa Kubba Bigezo

0
345

Abazadde e Mayuge bagobye omukulu w’essomero lya Umar Islamic Institute day and boarding primary school era nga y’e disitulikiti khadhi we Mayuge Shiekh Musa Kasakya, lwa bayizi kugwa bigezo bya PLE.
Bano ababadde tebasalikako musale nga bakulembeddwa imam womuzigiti gw’e Kaluuba mu ggombolola y’e Busakira e Mayuge Sheikh Nuhu Manghaya, bagamba disitulikiti khadhi adibaze essomero lyabwe ekissizza omutindo nga n’abaana abasomeramu bonna baaguddewa ebigezo by’ekibiina ekyosanvu.

TagsPLE