Amagye ne Poliisi Bali Kimu ku Boda Boda 2010

0
891

Oluvannyuma lw’ebikwekweto ku bazzi bemisango ebibaddewo okuvIira ddala ku nkomerero ya wiiki, ebitongole ebikuumaddembe biwera nti tebigenda kussa mukono okutuusa nga bimaze okufuuza n’okumalawo abazzi b’emisango mu ggwanga. Webukeeredde leero nga poliisi ekyafuuza enfo z’abagoba ba bodaboda ab’ekibiina ekimanyiddwa nga 2010 ekigambibwa nti kibadde kikola effujjo nga ne bakama baakyo kigambibwa balina akakwate ku nfa y’omubalirizi w’ebitabo aliro lya Case Clinic eyattibwa gyebuvuddeko Nabakooza Lydia yalina ebisingawo