Ebyama ku Ddagala Ly'abafu mu Nyama

0
323

Waragai kyekimu ku bintu ebyobulabe ku mubiri gw’omuntu anti kigambibwa nti asobola okwonoona ebitundu byomubiri munda kawolawola okukakana ng’akutusiiza e Kaganga. Kakati ensangi ensangi zino emboozi enyumizibwa ya mawulire ga nnyama gyebagula ku midaala nga kigambibwa nti waliwo abakinjagi abagikubamu eddagala erikuuma emirambo negitavunda nti nabo lyebassa ku nyama netavunda nensweera nezitagisemberera. Wabula ye Dr. Vicent Kafuuzi Karuhanga mukugu mu byeddagala abanywa enkangaali bo abazizaamu manyi nti bakavvule nyama yaabwe nebwebaamu Fomaline kasita banywa enkangaali yaabwe mbu kijja kubataasa akatyabaga kebayinza okufuna ngabalidde ennyama ekubiddwamu eddagala lyabafu.