Empuuta Zeeyongedde Mu Nnyanja

0
799

Okuva omukulembeze we gwanga Yoweri Kagauta Museveni lwe yasalawo okussa amajje ga UPDF ku Nyanja nalubaale omwaka oguwedde okunyikizza ebikwekweeto ku nvuba embi eyali ekyasse e nyo ebiseera ebyo, ebibala bingi bizze byeyoleka omuli nebyenyanja okweyongera obungi mu Nyanja. Abavubi na’basubuzi be bye nyanja okusingira ddala e mpuuta ku mwalo gwe katosi ogusangibwa mu ggombolola ye Ntenjeru mu disitulikiti ye Mukono, bagamba nti ebikwekweto bino babasoboseza okwongera ku bungi bwe mpuuta ezikwatibwa ate nga nkulu ekimala wabula nga kino kibalesse balajana nti kko akatale ate kasse nyo ekitagambika.