Kayihura Amakanda Yagasimba Buddu

0
846

Ssaabaduumiz wa poliiisi Gen. Kale Kayihura ayongedde obukodyo mu kulwanyisa obutemu mu bitundu by’e Masaka bakkondo gyebabadde balumba abantu mu kiro nebabanyaga n’okubatemula. Mu kaweefube w’okuzza emirembe mu bitundu by’e Buddu bassentebe b’oku byalo bayitiddwa bukubirire e Bukomansimbi okutema empenda ez’okulwanyisa abazigu abasuza Bannabuddu nga bakukunadde nga lumonde mu kikata.