Kayihura Yasooka Kuwolereza Boda Boda 2010

0
883

Oluvannyuma lw’ekitongole ekikettera munda mu ggwanga ki ISO wamu n’ekyamagye ekikessi ki CMI okukwata Omuyima wa Boda boda 2010 olunaku lwajjo, leero tukuleetedde ebigambo bya Ssaabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura byeyayogera jjuuzi ng’ awaana aba Bodaboda 2010 nti babadde balungi Gen. Kayihura yategeezezza nti musajja we Adbdu Kitatta akoze kinene nnyo okuyamba ku b’ebitongole ebikuuma ddembe okulwanyisa bakifeesi n’obumenyi bw’amateeka mu Kampala nga muno mwemuli n’okulwanyisa ab’oludda oluvuganya gavumenti.