Kkooti Ekkirizza Okulonda Kw'ebyalo Kubeewo

0
308

Abaali muyimirizza okuyigga obululu ku bwa ssentebe bwebayalo kyekiseera muddemu mutalaage ebyalo nga munoonya obululu, oluvanyuma lwa kkooti enkulu okukkiriza akakiiko kebyokulonda okuttukiza enteeteeka z’okutegeka akalulu kano, anti oludda oluwaabi lukkaanyizza n’akakiiko ebweru wa kkooti Okulonda kwebyalo kwalina kubeerayo mu mwezi gwa gwa 11 naye newabaawo abantu abaaloopa okwali omusomesa James Tweheyo eyagamba nti ssinga okulonda kubaayo olwo abayizi n’abasomesa abaali bakola emirimu n’okusoma tebaalironze.