Museveni Atabuse Lwa Ddagala mu Nyama

0
1033

Abantu bangi bawawala amattu nga bategedde nti enyama gyebabadde balya etekebwamu eddagala erikubwa mu baffu baleme okuvudda ekintu abasawo kyebagamba nti kyabulabe nnyo eri obulamu bwomuntu. Pulezidenti Museveni yomu kwabo abali mukutya okwamanyi nokunyolwa alwabantu abagaala okusanyawo bannayuganda .Pulezidenti asinzidde mu lukungaana lwa balamuzi e Munyonyo nanenya ekitongole ekiramuzi olwekibonerezo kyebawadde abantu abo era nasekerera aba banakyewa abamubojja ku luwoozi lwokuddamu okuwanika abemanyi ba mateeka ku kalabba.