Omulimu Gwa Booda Booda

0
422

Omuntu bw’ayogera ku mulimu gwa bodaboda wano mu ggwanga bangi basooka kulowooza mize abamu ku bakola omulimu guno mwebeenyigira gamba ng’obubbi, okukola effujjo, okwekalakaasa olutatadde, okuvugisa ekimama n’ebirala. Bino byonna bireka abavuzi ba boda nga kumpi buli muntu abeekkokkola wabula bbo abakolera mu munisipaali y’e Kira bandifuuka ab’enjawulo ku bannaabwe banti bafunye ebigendererwa eby’okwekumaakuma beekulaakulunye nga batandikidde ku kugula ttaka kwebaagala okuzimba essomero.