Abafere Batiisatiisa Namuganza

0
1187

Minisita omubeezi akola ow’ebyettaka Persis Namuganza obulamu bwe buli mu katyabaga oluvanyuma lw’abantu abatanaba kutegeerekeka okumuwereza obubaka obumutiisatiisa okwagala okumukuba amasasi nga bano bamuwadde enaku satu zoka nga bamusanyizawo. Minisita Namuganza era mwerariikirivu oluvanyuma lw’abafere okutandika okuweereza nnamba ya simu ye eri abantu omuli abanene mu gavumenti kwosa n’abalonzi be, nga babasaba ensimbi.