Enkyukakyuka mu By'obufuzi Zizze ku Lukalu

0
1198

Ssemazinga Africa afunyee akabuguumiriro olunaku olw’aleero, anti amawanga abiri abakulu balekulidde. Agava mu ggwanga lyokumuliraano wano mu Ethiopia gooleka nti abadde ssaaabaminsita waayo Hailemaliam Desalegh alekulidde ekifo kino olwensonga ezinnamanyika wabula wetujjidde ku mpewo nga yamaze dda okuwaayo ebbaluwa ye erekulira. N’e mu ggwanga erya South Africa, abadde pulezidenti waayo okuva mu 2009 Jacob Zuma kyaddaaki yakkiriza, naava mu ntebe era naasikizibwa munnakibiina kye ekya ANC, Cyril Ramaphosa.