Kkooti Egobye Okusaba Kwa Kirumira

0
956

Kkooti etuula ku Buganda Road mu Kampala egobye okusaba kw’omupoliisi Mohammad Kirumira kweyateekayo ng’awakanya okuwozesebwa kwe mu kkooti ya poliisi eramula abaserikale ablina ettumba. Kirumira, yeekubira enduulu mu kkooti eno nga agamba nti talina bwesige mu kkooti ya poliisi Omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti eno ategeezezza nti kkooti eno terina buyinza kusalawo ku kuyimbula Kirumira, bw’atyo n’agoba okusaba kwa Kirumira. Ono bamuzizzaayo mu kkooti ya poliisi gy’abadde edduka.