Abaazirwanaako Basiiba mu Birombe

0
989

Abaazirwanako abasoba mu 6000 babakanye ne kaweefube w’okubumba amategula n’amatoffaali ag’omulembe okusobola okufuna ensimbi ezibayamba okweyimirizaawo era zebanaakozesa okuzimbira bamulekwa ne bannamwandu ennyumba okusinga okulindirira akasiimo ka gavumenti akatono ddala akatayinza kubagasa. Bano bakola amatoffaali wakati wa 2000-2500 buli lunaku gebatunda nebafunamu obukadde obukunukkiriza 100 buli mwezi. Bagamba nti ensimbi ezivaamu bajja kuzikozesa okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe eby’enjawulo omuli n’okwetandikirawo Sacco mwebanaayitira okwesasula akasiimo okusinga okulinda gavumenti.