Ababaka Bakolokose Abakutte Kirumira

0
849

Ababaka ba palamenti bavumiridde eryanyi erikozeseddwa mukukwata omudumuzi wabwe mu district ye Buyende Muhammad Kirumura enkya yaleero mu maaka ge agasingibwa eBulenga waano mu kampala. Abaabaka ababadde abanyivu enyo kubigenda mu maaso mukitongole kya poliisi, kaati, bagala palamenti eveeyo enonyereze kubigenda mu maaso mukitongole kkiino nga ekiwundu tekinaba kusamba ddagala. Wabula ye omubaka wa Aruu South Odanga otto awakanyiza ebya babaka bane nagamba nti Kirumira abadde akisana okukwatibwa kubanga yomu kubadumizi ba poliisi bona abaali muganda abazze babatulugunya nga aboludda oluvuganya gavumenti mu Uganda.