Abajaasi Mugira Mulindako Akasiimo – Okello Engola

0
447

Minister omubeezi ow’ensonga z’ebyokwerinda Charles P Okello Engola agumiza abajaasi b’egwanga abafuna obulemu ngabali kugye gwanga, nti akasiimo kaabwe akadde konna kajja kubatukako wadde nga kikyayinza okutwala ebbanga lya myaka essatu. Minister abadde kukabaga akategekeddwa e Mubende mu nkambi y’amagye okwebaza omutonzi olw’ebirungi bano byebakoledde egwanga.