Abakungu ba Gavumenti Okuva e Nakaseke Bakigguddeko

0
407

Abakungu ba gavumenti mu disitulikiti ye Nakaseke kata ebifuba bibabugumire mu kakiiko ka paalamenti ne beeragira effugabbi erivuddeko omutindo gw’ebyobulamu okusereba ennyo mu district eno. Akakiiko ka paalamenti ak’ebyobulamu kabaddi kasisinkanye abakungu b’e Nakaseke okwogera ku mutindo gw’ebyobulamu oluvannyuma lwa sipiika okubasindiikayo okwetegereza eby’omusujja oguva ku nkwa ogumanyiddwa nga cremian Congo fever.