Abasomeseza Mu ‘Biraaro’ Gabamyuse e Mukono

0
891

Ekiwendo ky’okufeffetta amasomero agatalina bisaanyizo ekimaze wiiki enamba e Mukono kirese amasomero agakunukkiriza mu 20 nga gaggaddwa nga n’abayizi bebalagirwa okudda ewaabwe bazadde baabwe babanoonyeze amasomero amalala agalina ebisaanyizo. Omulambuzi w’amasomero e Mukono Olivia Bulya n’amyuka meeya w’ekibuga kino Jamadar Kajoba abakulembeddemu ebikwekweto bino beerayiridde nga bwebatajja kuganya ssomero lyonna eritalina bisaanyizo kukolera mulimu gyalyo e Mukono.