Ab'e Masaka Bakaaba lwa Bbula lya Mazzi

0
510

Mu kiseera kino nga ppereketya w’omusana akyeyongera okwememula mu bitundu by’eggwanga ebisinga,nga nabasinga baguwanda lulusu ate yo mu Bbendobendo ly’e Masaka abaayo batuuse okutondoka nga bagwa eri lwa bbula ly’amazzi agakozesebwa mu bulamu bwa bulijo era nga kati batindigga engendo okugafuna. Munjogera enyangu ab’eno amazzi gabafukidde otuzzi.