Akalulu K’ekikungo Kabindabinda

0
422

Bannayuganda mwenna ababadde beesunze okwetaba mukalulu keekikungo akookwongezaayo emyaka gy’ekisanja ky’omukulembeze w’eggwanga musale malala, anti agaliwo galaga nti NRM eyagala abakulembeze bebitundu bebaba basalawo ku nsonga eno. Okusinzira ku akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti era nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti ey’e Kasese Winnie Kiiza, agambye nti bagudde mu lukwe lwa NRM okuleta enongosereza mu palamenti nga abakiika ku disitulikiti bokka bebagenda okulonda, era basaliwo abo bebakiikirira.