Akatale K'omusaayi Okasanga Eno e Kamuli

0
876

Wadde ng’etterekero ly’omusaayi erya Nakasero Blood Bank lyategeeza nga bwewatakyaliwo bbula lya Musaayi mu malwaliro ng’embeera bwebadde emabageko,era naba FDC abaali bekozeemu omulimu okuwaayo omusaayi ogwabwe nebagugaana ate yo mu ddwaliro lya Gavumenti e Kamuli ekiriyo kyawukana. Omusasi waffe bw’atuseeyo asanze omusaayi gukyali gwa bbula era nga abagwetaaga bagula mugule. Abeeno bagamba nti bakatwaala ebbanga lya myezi mukaaga nga tebagulabako.