Akavuyo mu Kkooti, Abayimbuddwa Beesibidde mu Kkooti

0
416

Abakuumbaddembe batuunye okukwata abasajja bataano ababadde beggalidde mu kkooti ya KCCA oluvannyuma lw’omulamuzi okubayimbula. Poliisi kigitwalidde essaawa ezisobye mu nnya ng’erinze abasajja bano bafulume naye nga buteerere okutuusa lwebeggattiddwako bannaabwe abalala ne bayingira kkooti lwa mpaka ne bbabasikambulayo ku mpaka. Abantu bano omukaaga bali ku musango gwa kubba zzaabu, okufuna ssente mu ngeri emenya amateeka, okufuna ensimbi mu mankwetu, okusalimbira mu bitali byabwe n’okwekobaana okuzza emisango ssaako okugingirira ebiwandiiko.