Atayagala Kuweerera Abaana Waakukwatibwa

0
416

Abazadde n’abakulembeze mu ssaza ly’e Bamunanika mu Bulemeezi bennyamivu olw’abaami abakotoggera abaana baabwe nga bagaana okubasasulira ebisale by’essomero. Bagamba nti basazeewo okwekolamu omulimu gw’okukwasizaako ab’obuyinza okukwata n’okuggalira abazadde abagaana okutwala abaana mu masomero naddala abaami nebadda mu kuzinywamu omwenge n’ekulya EMPUNU.